gwe mulundi ogusoose okuteekawo olunaku lw’Ebirogologo mu nsi yonna, olunaku lw’Ebirogologo 2014.
Twagala okumanyisa abalwadde abalina ekirwadde ky’Ekirogologo oba Ekyoka, Ab’amawulire, Abasawo ne Bannabyabufuzi. Mu ngeri eno twagala okulaba nga abantu bafaayo n’okwongera okumanya obulwadde bw’Ekirogologo. Abasawo bangi babe n’okumanya ku ndwadde eno era nga mw’ekyo abalwadde basobole okufuna okukeberebwa okutuufu awamu n’obujjanjabi obusinga obulungi. Buli muntu ayitibwa okwetaba mu lunaku luno olw’okujjukira n’okulwanyisa Ebirogologo oba ekyoka mu mwaka 2014.
Ku Mutimbagano mwogere ku ndwadde eno, Emitimbagano ne mikutu gyagyo ej’enjawulo. Mu ngeri eyo mumanyise abantu / ab’emikwano olunaku lw’Ebirogologo / Ekyoka (Urticariaday 2014). Mu Maka ne mu bantu bannaffe abalwadde Ebirogologo ebireetebwa ekyoka. Teekako ekifaananyikyo era owe olunaku lw’Ebirogologo 2014 ekifaananyi eky’okumanyika!
Olunaku lw’Ebirogologo 2014 lwakungibwa bannaffe aba UNEU, emikutu gy’okumanyisa ku birogologo (the Urticaria Network e.v.) n’ebitongole bingi eby’enjawulo mu nsi yonna. Bonna abali mu mulimo gw’okubudaabuda abalwadde abalina ekyoka oba okufuukuuka omubiri olw’ekirwadde ky’ekirogologo.
Weebale nnyo weebalire ddala okuba omu ku balwanirizi b’abalwadde B’ekirogologo.